crossorigin="anonymous"> Okujjuza ekifo ky'omubaka w'ekitundu kye Omoro, NRM kiraze nga bwekiri mu nteekateea z’okwetaba mu kulonda. - KTV & 93.0 KINGDOM FM
December 22, 2024

Ekibiina kya NRM kiraze nga bwekiri mu nteekateea z’okwetaba mu kulonda okwokujjuza ekifo ky’omubaka w’ekitundu ekyo.

Ssemateeka w’eggwanga akirambika bulungi nga omukulembeze bw’ava mu bulamu bw’ensi eno kyekyatagissawo ennaku ezitasukka 60 nga okulonda kutegekeddwa okukijjuza.

Ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong agamba nti beetegefu okulaba nga basimbawo omuntu mu kifo kino era akiwangula asobole okukola emirimu nga Oulanyah bwabadde akikola.

Ono agamba nti ekibiina kyakukola okusunsulamu omuntu oyo omutuufu

Todwongo era akutidde bannayuganda okwefumiitiriza ku bulamu bwabwe nga balabira ku yesu kristo mu kiseera nga ensi egyaguza amazuukirage.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *