crossorigin="anonymous"> ABA NUP BAGAMBA WALIWO ABAAGALA OKUBBA AKALULU. - KTV & 93.0 KINGDOM FM
December 21, 2024

Bannakibiina ki NUP bavuddeyo nebalaga okutya kukalulu akagenda okukubibwa olunaku lw’enkya mu bitundu bya Omoro nga bagamba bafunye amawulire nti waliwo abategese okukakwatamu

Mu kiseera kino nga abantu mu omoro beetegese okusuula akalulu kaabwe olunaku lw’enkya okufuna omubaka omujja ow’okudda mu kifo ekyalimu omugenzi Jacob l’okoli oulanyah, bannakibiina kya NUP bavuddeyo nebalaba okutya nga bwewaliwo abeesomye okubba akalulu kano.

Nga basinziira mu lukungaana lwa bannamawulire lwebatuuzizza ku wofiisi y’ekibiina kyabwe e Gulu banna nup bategezezza nti bafunye amawulire nga waliwo abagenda bagulirira abalonzi n’ensimbi emitwalo ebiri ebiri okusinziira mu maka gaabwe nga era bano bategeezezza nti bakitegeddeko nga waliwo abantu abasombebwa okuva mu bitundu bye lango okusobola okwetaba mu kulonda kw’enkya nga akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti mathiusa mpuuga nsamba bwannyonnyola.

Kyokka ono agambye nti beetegese okukuuma akalulu k’omuntu waabwe toolit akecha era akakiiko k’ebyokulonda akasabye okukola ekisoboka kyonna okulaba nga akalulu kabeera ka mazima n’obwenkanya

omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda paul bukenya mu kwanukula akakasizza nga akalulu bwekagenda okuba ak’amazima n’obwenkanya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *