Abaddukanya Ssettendekero wa Ndeje basabye gavumenti okulaba nga etuukiriza ekisuubizo ky’okukola oluguudo olutuuka ku ssettendekero ono.
Bino babyogeredde ku mukolo gw’okujaguza emyaka 30 nga ssettendekero wa Ndejje abangula abaana b’eggwanga.
Ssettendekero wa Ndejje essira asinga kulissa ku masomo ga ssaayansi n’obuyiiya kino nga abaddukanya ssettendekero ono bagamba nti bakikola okulaba nga abayizi tebayigga mirimu nga bamalirizza emisomo okujjako okwetandikirawo egyabwe
Kyansala wa ssettendekero ono Bishop Hnnington Mutebi asinzidde ku mukolo gw’okujaguza emyaka 30 nga ali mu nsiike alaze nga bwebagenda okwongera amaanyi ku byenfuna okusobola okutambula n’omulembe
.
Ono era asinzidde wano najjukiza pulezidenti ku kisuubizo kyeyakola eky’okukola oluguudo olutuuka ku ssettendekero
.
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja yaabadde omugenyi omukulu nga ono akiikiriddwa minisita omubeezi owa kampala Kabuye Kyofatogabye.
Ono mu bubaka bwe ayongedde okuwa abayizi ba ssaayansi essuubi nti omusaala gwabwe gwakwongezebwa gwebafuna nga bali ku mirimu.
Ssaabaminisita nabbanja awaddeyo obukadde 10 okuyambako mu kuzimba ekitongole ekibangula abasawo
Amyuka chancellor wa ssentendekero ono prof.eliab.lugujjo ayogedde ku ngeri gyebasobodde okutumbulamu ebyenjigiriza.