crossorigin="anonymous"> OKULWANYISA OKUKUKUSA ABANTU. ABASIRIKALE OKUVA E MBALE BASOMESEDDWA KU BUKODYO - KTV & 93.0 KINGDOM FM
December 30, 2024

Ekitongole kya poliisi ekirwanyisa okukusa abantu ekituula ku CIID ekibuli kisomesezza bassajja baak yo okuva mu bitundu bye Mbaale ku ngeri yokutangiramu emize gino mu kitundu kyaabwe .

Bino bibade mu lukiiko olutuuziddwa mu Divizoni ye Wanale mu kibuga mbale luno nga  lwetabidwaamu abadumizi ba police n’amagye mukitundu kino saako abakulembeze okulaba nga bongerwa okubangulwa n’okumaya amateeka amappya ku bantu bano ab’enyigira mu kukusa abantu naddala nga bakoseza ekitundu kino ekye Mbale.

 AKulidemu okusomesa kuno nga mukungu okuva ku CID KIBULI Fred Namala n’aba kitongole kya Make a Child smile Again  abakulembeddwamu Alex Ssembattya babuulidde ba officer bano obumu ku bukoddyo abakukusa abantu bwe bakozesa era nebasabibwa okumanyisa abantu mu bitundu gye bava ku kabi akali mu kintu kino .

Bategezeza nti Ekitundu kye Mbaale kyekimu ku bitundu abantu bano bye basinga okukozesa nga bakukusa abantu okubatwaala mu Kenya naawalala.

 Ye akulira  police n’omuntu wa Bulijjo mu Elgon Region Zainab Namuyindi asinzidde wano naatubuulira okusomoozebwa okuli mu kitundu kye era nasaba abazadde obutamalanga gawaayo baana baawe bwebatyo.

Alex ssembatya nga yaakulira ekitongole kya Make Achild Smile Again n’abakulembeze abalala  baliko byalambuludde ku nteekateeka eno.

Era nalagga okutyya olw’o muzze guno okweyongera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *