ABALWETABYEMU OLWALEERO BALUTENDA, BAZIGIRIDDE BANNAABWE
Abakyala bakubiriziddwa obuteetuulako kyokka nti babeereko kyebakola baleme kulinda nsimbi za ku kameeza.
Bino bibadde mu bubaka bw’omusumba Cindy Kiganda wakati mu lukungaana lw’abakyala olwa Royal Women Beauty Conference ku kkanisa ya Christianity Focus Centre e Mengo mu Kisenyi.
Olukungaana lwa bannalulungi b’obwakabaka olwaleero lukutte olunaku olwokubiri nga luyinda era nga abakyala n’olwaleero bajjumbidde.
Omusumba Nalongo Cindy Kiganda nga ye mutegesi waalwo akubirizza abakyala okuvaamu enkola y’okulinda abaami n’ensimbi z’oku kameeza nga agamba nti abasajja b’ebiro bino nabo tebaagala bakyala bafaanana nga ababazimbirira
Abakyala era abasabye okwewala okukungubaga nga bayita mu bizibu nti kyokka bino byabyanjulire KATONDA.
Ye omusumba Granny Silindza okuva mu ggwanga lya south Africa asabye abakyala okukyuka awmu n’okugonda mu buli mbeera
Abakyala abenjawulo ababaddewo balaze byebayize era nga bakubirizza ne bannaabwe abalala okulwettanira nga terunnaggwa.
Olukungaana luno olubeerawo buli mwaka lwa mulundi gwa munaana era lwakukomekkerezebwa ku ssande ya sabbiiti eno nga ennaku z’omwezi 29th omwezi gwokutaano era nga ku olwo waakubeerawo n’ekijjulo ekyenjawulo omuli n’okusiima abantu abenjawulo