crossorigin="anonymous"> Abasawo bateereddewo gavumenti ssalessale , bagala ensonga zabwe zikolebweko - KTV & 93.0 KINGDOM FM
January 22, 2025

Abasawo wano mu ggwanga wansi w’ekibiina kyabwe ki Uganda medical association balaalise okuddamu okussa wansi ebikola si nga zinatuuka nga 1st omwezi gwokutaano omwaka guno nga byebazze basaba gavumenti tebikoleddwako.

Bano bagamba nti ebintu bingi byebazze basaba nga okujja ku misaala gyabwe emisolo saako okubongeza emisaala n’ebirala nti kyokka nga byonna mpaawo kikolebwako.

Abasawo wano mu ggwanga bagamba nti ensimbi z’omuwi w’omusolo nyingi ezisasaanyizibwa ku malwaliro nti kyokka nezifiira obwemage oluvannyuma lw’okuba nga amalwaliro tegaliimu bikozesebwa ekintu gyebagamba okuba nga kyekimu ku bireetera abasing okuddukira ebweru w’eggwanga bwegutuuka ku bujjanjabi.

Bino byogeddwa akulira Uganda medical association Rd Oledo Samuel Odongo mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa e mulago.

Ono alaze nga gavumenti bwebagiteereddewo ssalessale okutuuka nga 1st omwezi ogw’okutaano omwaka guno nga etadde ebikozesebwa mu malwaliro saako n’ensonga endala nga era ekyo bwekigaana baakuddamu okussa wansi ebikola

Ono alaze nga omukulembeze w’eggwanga bwazze avaayo enfunda eziwera nga asiima abasawo olw’omulimu gwebakola nabwekityo naagamba nti agwanidde okutuukiriza ebigambo bye nga bwazze asuubiza gyebali

ssaabawandiisi w’ekibiina ky’abasawo luswata Herbert yeeyabazizza gavumenti olw’okwanukula ku miranga gyabwe egimu kyokka naasaba buli nsonga ekolebweko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *