crossorigin="anonymous"> ABATUUZE BEEKALAKAASIZZA NGA BAWAKANYA ENSIMBI EZAAGEREKEBWA KU KASASIRO. - KTV & 93.0 KINGDOM FM
April 27, 2024

Abatuuze e mukono beekalakaasizza olw’ensimbi ezaabagerekebwa abayoola kasasiro nga bagamba nti zino nyingi tebaziyinza.
Bano baddidde  okuyiwa kasasiro mu luguudo lw’omu kikko olugatta ku Wantoni.

Olunaku lwa jjo twakulaze wano abatuuze e mukono nga beemulugunya ku nsimbi ezaabagerekebwa abayoola kasasiro zebagamba nti nyingi era kino kireetedde kasasiro okumansibwa mu buli kifo omuli n’enguudo z’omu kitundu.

Kati olwaleero abatuuze bano okuva mu central division nemunisipalite   bavudde mu mbeera nebaddira okwekalakaasa nga bagamba nti si kyabwenkanya okubasalirawo okusasulira kasasiro buli nyumba ensimbi eziri wakati w’emitwalo 28000 n’emitwalo ena.

Bano bakutte kasasiro ne bamuyiwa mu luguudo wakati mu kusakaanya.

Waliwo aba bodaboda abagezzaako okuyitawo mu luguudo kyokka nga abatuuze bagezaako okubatangira kino nga kivuddeko akanyoolagano

Poliisi etuuse okukkakkanya embeera kyokka nga esanze akaseera akazibu okujja kasasiro mu luguudo oluvannyuma lw’okuba nga weebadde emujja nga abatuuze webamuzza.
 
Abatuuze bano beegattiddwako abakulembeze okulaga obutali bumativu n’engeri ensimbi za kasasiro gyezigerekebwamu.

Olunaku lwa jjo twakulaze meeya wa central division Robert
Peter Kabanda nga alumiriza munne Erisa Mukasa Nkoyooyo nga ali mu kkobaane ne kampuni eyaweeba ttenda okusolooza ku bantuuze ensimbi za kasasiro enyingi okwawukana ku ezo zebaali bakkaanyaako.
 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *