Akakiiko ka palamenti akvunaanyizibwa okulondoola entambula y’emirimu mu bitongole bya gavumenti ka Cosase bakunyizza kaliisoliiso wa gavumenti betty kamya ku nsimbi obuwumbi ekkumi mu obukadde olukaaga ezaasasulibwa abantu mu kiseera nga akyali minisita w’ebyettaka nga zino zigambibwa okuba nga tezaayita mu makubo matuufu okusinziira ku mubalirizi w’ebitabo bya gavumenti.
Ababaka baweze okunoonyereza okuzuula b’ani abaafuna ensimbi nga tebalabikako
Kaliisoliiso wa gavumenti betty kamya olwaleero alabiseeko mu kakiiko ka cosase ku mivuyo egyazuulibwa mu kakiiko k’eggwanga ek’ettaka ka Uganda land commission ku ebyo ebyaliwo mu kiseera nga akyali minisita w’ebyettaka.
Ono asoose nakwetondera kakiiko olw’obutalabikako ku lunaku lweyasooka okuyitibwa
Ono abuuziddwa ku nsimbi obuwumbi 10 mu obukadde olukaaga ezzayisibwa ne ziweebwako abantu b’olubatu nga ezimu zigambibwa okuba nga zaagabanibwa ba mpewo
Kyokka betty kamya ategeezezza akakiiko nga naye bweyalina obuzibu ne ssentebe w’akakiiko k’ettaka eyayimirizibwa Beatrice byenkya nyakayisiki nga agamba nti teyamuwulirizanga
BETTY KAMYA ategeezeza nga bwe yawandiikira ministry ye byensimbi nga agyisaba okuwa abantu abali babanja Uganda land commission ensimbi era ne zibaweebwa.
Abatuula ku kakiiko kano nga bakulembddwamu ssentebe wabwe joel ssenyonyi balaze we batuuse ku ntikko y’ensonga za Uganda land commission,era bagamba nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso eyabulankanya ensimbi zomuwi womusolo.
office ya kaliisoliiso wa government betty kamya kinajjukirwa nga yaweebwa olukusa okulondoola ku mukyala byenkya nyakayisiki kyokka nga n’ono mu muvuyo erinnya lye mweriiri.
Kamya ku nsonga eno ategeezeza nga ensonga bwagenda okuzikwasa omumyuka we. Akakiiko kano kalagidde aba Uganda land commission okuleeta akawuunta zonna ze balina ne ba kaminsona okwongera okuzeekebejja oba nga kwayitako ensimbi ezitaali za musaala gwabwe.