crossorigin="anonymous"> OKULONDA KWA OMORO EBIKOZESEBWA BISUZE KU KITEBE KYA DISITULIKITI - KTV & 93.0 KINGDOM FM
January 22, 2025

Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nga enteekateeka zonna bwezimaliriziddwa okusobozesa okulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa omoro okutambula obulungi olunaku lw’enkya.

Ebigenda okukozesebwa byonna mu kulonda kuno bisuze ku kitebe kya disitulikiti ya omoro webijja okuva okutwalibwa mu bifo ebironderwamu enkya ku makya.

Abantu b’omu kitundu kya omoro basuze bulindaala okwetaba mu kulonda olunaku lw’enkya okw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa paalamenti ow’ekitundu kino ekyalimu omugenzi Jacob l’okoli oulanyah.

Ku Ssaawa nga satu ez’okumakya ebintu ebigenda okozesebwa mu kulonda kuno bitusiddwa KU kitebe ekya Disitulikiti ya Omoro wakati mu bukuumi obwamaanyi ne bikwasibwa Akuliira eby’okulonda mu Omoro Moses Kagona.

Kagona ategeezezza nti okulonda kuno kwakutandika ku Ssaawa emu ey’okumakya naagamba nti basuze bategese buli ekyetaagisa okulaba nga abantu ba Omoro balonda bulungi.

Mu ngeri eyenjawulo akakiiko k’ebyokulonda kasisinkanye abamu ku ba Agent baabeesimbyewo okubalambika amateeka gonna aganagobererwa mu kulonda kuno.

Akuliira akakiiko kebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama agambye tebajja kukirizza muntu yenna kukwata bifananyi naddala mubifo awagenda okulondererwa.

Mu kiseera kino ebyokwerinda binywezeddwa kukitebe Kya Disitulikiti ya Omoro awagenda okugattirwa obululu bwonna era Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekya Aswa Ongom David agambye nti tebajja kukirizza muntu yenna kukola ffujjo mukulonda kuno.

Abavuganya mu kulonda kuno Bali mukaaga okuli Andrew Ojok akwatidde ekibina Kya NRM bendera , Simon Toolit Akecha owa NUP , Justin Odonga Obiya , Munnamateela Oscar Kizza ow’ekibiina Kya Alliance for National Transformation, Oscar Kizza , Onen Walter Jimmey ne Odong Terence nga bano besimbyewo ku bwa nnamunigina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *