crossorigin="anonymous"> OKULWANYISA ENVUBA EMBI - KTV & 93.0 KINGDOM FM
December 14, 2024

OBUTIMBA MU MUKOKOTA N’AMALOBO BYOKEDDWA

Eggye erirwanyisa envuba embi ku Nyanja lyokezza obutimba bu mukokota n’amalobo ebyakwatiddwa mu bikweeweeto ebyakoleddwa mu bitundu bye  Entebbe , Mukono n’e Mbale bino nga  bibalirirwamu obukadde 447.

Lt. Col. Dick Kaija akulira  eggye erirwanyisa ebikolwa byenvuba enkyamu, akakasizza nti ebikwatiddwa byokeddwa  mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisookerwako Entebbe Naume Sikhoya .

Ono agamba nti batandise kaweefube w’okufuuza ebivubisibwa ebikyamu nga obwanga babwolekezza abasuubuzi ababiyingiza mu ggwanga

Wano era ategezezza nga abananyini bintu bino abamu bwebaagombebwamu obwala nebasingibwa emisango so nga abajagujagu bassaako kakokola tondeka nyuma

omulamuzi w’entebbe akakasizza nga ebikoleddwa bwebiri mu mateeka era nti basoose kubawo lukusa

Sentebe wo’mwalo guno Sarah Ddungu Ibare   asiimye omulimu ogukoledwa aba FPU.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *