crossorigin="anonymous"> OKUZIIKA OULANYAH - KTV & 93.0 KINGDOM FM
January 22, 2025

Pulezidenti Museveni ayongedde okumutendereza. 

Emikolo gy’okuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob l’okori oulanyah gitandese ku ssaawa ssatu ez’enkya ya leero ku kyalo laloji mu disitukiti ye omoro

Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Jesica Alupo yaabadde omukungubazi omukulu era nga yaasomye obubaka bwa mukamawe pulezidenti Yoweri kaguta Museveni.

Ono atendereza Oulanya nga abadde omusajja atasooka kutunuulira  muntu kyali wabula nti  kyasobola okukola okugatta ku nsi ye.Bwatyo nakubagiza taata wo mugenzi namabugo ga 50M ate bbo abaana abawadde amabuga ga bukadde 20.

Ate sipiika wa palamenti Anita Among yeebazizza pulezidenti olwokukola buli kisobooka okutaasa obulamu bwomugenzi ne yebaza ne palamenti okuyimilirawo mukaseera ako ok’okugezesebwa.

Ssabalamuzi w’eggwanga Alfonsi Owinyi Dollo nga ono abadde omu ku baffanfe bomungezi era alaze ebbanja lyabalekedde bwatyo ne yeyama okulaba nga abaana bo Oulanyah basigala basoma.

Jacob l’okori oulanyah yava mu bulam7u bw’ensi eno nga ennaku z’omwezi 20 omwezi oguwedde okusinziira e seatle mu ggwanga lya America gyeyali addusiddwa okujjanjabibw

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *