crossorigin="anonymous"> OMUSUMBA ZAABIKE AKYABUZE - KTV & 93.0 KINGDOM FM
January 22, 2025

AB’OLUGANDA BAWANJAGIDDE AB’OBUYINZA OKUBAYAMBA

Ab’oluganda lw’omusumba Jackson bwanika amanyiddwa nga zaabike balaajanidde ab’obuyinza okulaba nga babayambako okuzuula omuntu waabwe ono oluvannyuma lw’ebbanga erigenda mu wiiki nga bamunoonya tebamulaba.

Ono yakoma okulabwako ku lwokutaano lwa sabbiiti ewedde bweyali agenda mu kusaba kw’okuyita mu kiro.

Omusumba era omuyimbi Jackson bwanika amanyiddwa ennyo nga zaabike yayawukana ne  mukyalawe namusoke immaculate ku lwokutaano lwa sabbiiti ewedde nga agenda mu kusaba kw’okuyita mu kiro mu kkanisa emu esangibwa mu bitundu by’e matugga.

Ono yali mu mmotoka ekika kya ractic kyokka nga okuva olwo ono taddangamu kukubibwako kyamulubaale.

Emmotoka ono gyeyalimu yasangibwa mu kasenyi k’e nangabo ku luguudo oluva e kasangati okudda e matugga ku lwomukaaga ku makya nga era yasangibwa erimu omusaayi saako n’ebintu bya zaabike okuli essimu n’ebirala.

Ab’oluganda lwa zaabike saako n’emikwano okuva olwo bali ku muyiggo gw’omuntu waabwe kyokka nga n’okutuusa kati mpaawo kyafuniddwawo kikwatagana ku mayitire ge.

Tutuseeko mu kasenyi k’e nangabo nga era abasuubuzi abakolera mu kifo kino batubuulidde nti emmotoka ya zaabike baagirabako ku makya g’olwomukaaga nga era abamu baali basoose kumuyita kasitoma.

Bano bategeezezza nti ekitundu kino kifumbekeddemu ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka bwebatyo nga bawanjagidde ab’obuyinza okulaba nga babayambako.

Ab’oluganda lwa zaabike okuli taatawe Johnson mayanja bagamba nti batambudde amalwaliro gonna kumpi obwoya kubaggwa ku ntumbwe nga mpaawo webayinza kusanga muntu waabwe.

Bano bawanjagide abeebyokwerinda nti bwebabeera beebakwata omuntu waabwe babayambe bababuulire waali lwakiri emitika gibakkeko.

Namusoke immaculate mukyala w’omusumba zaabike gwetusanze ku muyiggo gwa bba atubuulidde ku bugubi bwayitamu mu kiseera kino okuva bba lweyabula.

Zaabike nga omusajja agatta ebya katonda n’ebya kayisaali nga  mu by’obufuzi ye ssaabawandiisi w’ekisinde ky’ebyobufuzi ki heart of Uganda platform.

Ssenkulu w’ekisinde kino chemuko waluri naye avuddeyo naasaba abeebyokwerinda okubayamba okuzuula omuntu waabwe.

Ono ategeezezza nti singa gavumenti eremererwa okuzuula omuntu waabwe baakuvaayo balangirire ate oba oli awo kyebazzaako

ye amyuka sekamwa wa poliisi mu kampala n’emiriraano afande luke oweyisigire agamba nti bakyagenda mu maaso n’omuyiggo gw’eomusumba

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *