Emikolo gy’amazaalibwa ga ssaabasajja kabaka ag’emyaka e 67 egibadde girina okubaawo sabbiiti eno gyongezeddwayo paka mu mwezi gw’okutaano. Kamalabyonna wa Buganda owekitiibwa Charles Peter Mayiga yaafulumizza amawulire gano mu lukungaana lwa bannamawulire e bulange e mengo. |
Amazaalibwa ga kabaka gabeerawo ngenaku z’omwezi 13 ogwa kafumulampawu buli mwaka nga gano gakulemberwamu emikolo egyenjawulo omuli n’emisinde
Amazaalibwa ga bbeene ag’omwaka guno gabadde gaakujaguzibwa ku lwokusatu lwa sabbiiti eno nga ennaku z’omwezi 13.
Katikkiro Charles peter mayiga ategeezezza nga emikolo gy’amatikkira bwegyongezeddwayo nga kino alaze nga bwekivudde ku kya ssaabasajja okuba nga ali bweru mu ggwanga lya bugirimaani ku mirimu emitongole saako n’okuba nga yeekebejjebwa obulamu bwe.
Mu kiseera nga ebulayo sabbiiti emu wabeerawo emisinde gya kabaka birth day run era nga gino gyabadde girina okubaawo eggulo ku ssande ekintu ekitaasobose era katikkiro annyonnyodde ensonga era naagamba nti amangu ddala nga kabaka akommyewo baakuvaayo n’enteekateeka ennambulukufu
Mungeri yeemu kamalabyonna ayogedde ku lugendo lwe lweyabaddeko mu bitundu by’e mbarara