crossorigin="anonymous"> BESIGYE ALEETEDDWA MU KKOOTI - KTV & 93.0 KINGDOM FM
October 30, 2024

AKAKALU AKAMUWEEREDDWA KA BUKADDE 30, AGAMBYE TAZIRINA

Eyaliko senkulu w’ekibiina kya FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye ne banne bwebaakwatiddwa olunaku lwa jjo nga beekalakaasa olwa bbeeyi y’ebintu baleeteddwa mu kkooti ya Buganda road mu kampala.

Bano kkooti ebawadde akakalu nga besigye alagiddwa okusasula ensimbi obukadde asatui ez’obuliwo kyokka

Rtd col  dr kiiza besigye yagombeddwamu obwala olunaku lwa jjo okuva ku ARUA Park mu kampala bweyabadde agezaako okuzuukusa bannayuganda ku bbeeyi y’ebintu eri waggulu.

Ono yatwaliddwa ku poliisi e naggalama nga eno gyaggiddwa olwaleero okuleetebwa mu kkooti ya Buganda road mu maaso g’omulamuzi owomugisha sienna nga omusango gwasomeddwa gwakukuma muliro mu bantu omusango gweyegaanye

Nga ayita munnamateeka we ssalongo erias lukwago asabye okweyimirirwa era nga aleese abantu babiri okuli Wafura ogutu munna kibiina kya FDC ne aron kaijja  wabula nga omuwaabi wa gavumenti joan keko abadde n’okwumulugunya ku bantu bano abaleeteddwa.

Kkooti eno ewumuddemu nga oluzzeemu omulamuzi akakasizza nga abantu besigye baabadde aleese okumweymirira bwebatuukiridde bwatyo naamuylagira asasule akakalu ka bukadde 30 ez’obuliwo abamweyimiridde ne basabibwa okussa omukono ku kakalu ka bukadde 70 ezitali zaabuliwo kyokka nga besigye ayise mu munnamateeka we erias lukwago okutegeeza nga ensimbi ezimusabiddwa bwatazirina.

Ono era atubiliddeko nti Samuel lubega mukaku nabalala nabo bwebaweeredwa akakalu ka kkooti era kibiragiro ebyenjawulo.

Lukwago agambye nti olunaku lwekya waakukeera ku kkooti enkulu okuteekayo okwemulungunya kw’omuntu we ku nsalawo yomulamuzi ono.

Omusango guno gukomawo mu kkooti eno  nga 13 /06/2022 era nga oludda lwagavumenti lubuulidde kkooti eno nga bwerukyanoonyereza ku musango guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *