crossorigin="anonymous"> Bannamateeka badukidde mu kkooti enkulu ekololo nebakuba Attorney general ne Kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Ltd mu kkooti kubye endagaano eyawebwa musigansimbi omu okugula n'okutunda emwanyi za Uganda. - KTV & 93.0 KINGDOM FM
December 21, 2024

Bannamateeka ate nga balimi abamanyi badukidde mu kkooti etafuta ssemateeka nga bemulugunya ku konturakita gavumenti ya kuno gweyagala okukwasa obuvunanyizibwa okugula n’okutunda emwaanyi za Uganda zona.

Bano okubadde Byansi Henry ne Aboneka Michael badukidde mu kkooti enkulu nga bagala endagaano eno esooke eyimirizibwe era kusazibwamu.

Bano bagambye nti kkooti eno elina okudamu ebibuzo ebiwerako okuli okumanya emitindera minister w’ebyensimbi Matia kasaija ne bane abalala mwebayita okuwa kampuni yomunansi wa Italy Enrica pinetti okola omulimu guno,era bano bawakanya ekyono obutasasula misolo okumala ebanga Lya myaka 10, nebirala era bagala kkooti esazemu endagano Eno mbagirawo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *