crossorigin="anonymous"> KATIKKIRO MAYIGA AKALAATIDDE BANNAYUGANDA KUKUMA OBUTONDE BW’ENSI - KTV & 93.0 KINGDOM FM
October 30, 2024
Kamalabyonna wa buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda ne bannayuganda bonna okutwaliza awamu okutwala obuvunaanyizibwa bw’okukuuma obutonde bw’ensi.

Katikkiro okwogera bino abadde mu kuggalawo mwoleso gw’obutonde bw’ensi ogw’omwaka guno mu lubiri e mengo nga guno gutambulidde ku mulamwa ogugamba nti obutonde bw’ensi bwamugaso nnyo.
Katikkiro bwatuuse mu lubiri asoose kulambuzibwa midaala gy’aboolesezza okubadde ebintu ebyenjawulo ebiyamba mu kutaasa obutonde bw’ensi wakati mu kufumbaambiance.

Kamalabyonna ategeezezza nti ssaabasajja alumwa nnyo nga obutonde alaba bwonoonebwa era nti wano weyasinziira naasiima wabeerengawo sabbiiti y’obutonde bw’ensi mu bwakabaka buli mwaka okujjukiza bannayuganda obukulu obuli mu kukuuama obutonde bw’ensi. Ayongedde naalaga nga ensi bweri mu kattu olw’abantu abeefunyiride okusaanyawo obutonde nga er kino agamba nti kyekivuddeko obusandali obwenjawulo.
Gavumenti eyawakati asinzidde wano naagisaba okulaba nga ebeerako ne kyekola mu kukendeeza ebbeeyi y’ebintu wano mu ggwanga.
Eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi nga yaakiikiridde gavumenti eyawakati yeebazizza obwakabaka olw’ettoffaali lyebutadde ku bintu ebikulaakulanya eggwanga nga okugaba omusaayi, okukubiriza abantu okwegemesa endwadde ezenjawulo kuno nga kwekugattiddwa n’okukubiriza abantu okukuuma obutonde bw’ensi. 
Ye minisita w’obwakabaka avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi era nga yaabadde sentebe w’olukiiko olutesiteesi olw’omwoleso Hajati mariam mayanja nkalubo yeebaziza bannakyewa aba world wide fund for nature abawomye omutwe mu nteekateeka eno era naasaba gavumenti okuteekesa munkola amateeka agaateekebwawo okukuuma obutonde bw’ensi galeme kusigala ku mpapula.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *