Munnateeka Male Mabirizi akabiide amaziga mu kkooti ya buganda road bwabadde abulira kkooti okunyigirizibwa kweyayisindwamu mukomera e Luzira ekiro kyaleero nga ate kkooti enkulu bweyali nga emuwa ekibonerezo yamusindika mukomera ekitalya .
Ono agambye kkooti nga bwasula enjala ,asula bubi ekityobola eddembe ly’obuntu n’olwekyo asabye kkooti okuyisa ekiragiro eri ekitongole Kya makomera obutamuzayo eluzira bamutwale ekitalya.