Abakulembeze mu kkanisa ya Kristo wano mu ggwanga bavuddeyo nebasaba abakungu ba gavumenti okwejjema embeera efeebya ekkanisa kyokka nti batandike okusiima omulimu ekkanisa gwekoze mu kuzimba nyaffe Uganda.
Bano basinzidde ku bigambo bya minisita w’ensonga z’omunda wano mu ggwanga gen kahinda otafiire byeyayogedde nga asinziira mu bitundu bye bushenyi nti abasumba b’abalokole bavuddeko obwavu okusimba amakanda wano mu ggwanga okuyita mu kubeeza ennyo abantu mu makanisa.
Amawulire gaafulumye nga galaga nga minisita w’ensonga ez’omunda wano mu ggwanga gen kahinda otafiire bweyasinzidde ku kkanisa ya Temple Pentecostal Church mu tawuni ye Bushenyi esumbibwa omusumba Don Tumusiime n’agamba nti abasumba bebavuddeko obwavu okwesiba ennyo wano mu ggwanga mbu olw’okusiba abantu ennyo mu makanisa nebalema okugenda ku mirimu okukola.
Ebigambo byalabise nga tebisanyusizza bakulembeze mu nzikiriza era nga waliwo abavuddeyo okwanukula.
Omulabirizi dr david kiganda owa Christianity focus centre e mengo kisenyi agambye nti kyekiseera abakungu ba gavumenti okulekera awo okulengezza ekkanisa so nga ate ekoze ebintu bingi ebikulaakulanya eggwanga omuli okussaawo amasomero, amalwaliro n’ebirala ebintu oba oli awo ebyalibadde bikolebwa gavumenti.
Ono era agasseeko okulaga nga ekkanisa bwekola omulimu omulala omunene ogw’okukyusa obulamu bw’abantu ababeera baweddemu essuubi nebatuuka okuvaamu abantu ab’omugaso mu ggwanga abavaamu n’omusolo gwa gavumenti oluvannyuma.
Ye omulabirizi micheal Kyazze owa Omega Healing Centre e zzana asabye abakungu ba gaumenti olukongoolo okulujja ku kkanisa kyokka batunuulire ebizibu ebizingamizza eggwanga omuli enguzi n’ebirala ate ye omusumba ate era munnabyabufuzi nga yavuganyaako ne ku ntebe y’eggwanga Joseph Kabuleta ajjukizza abakungu ba gavumenti nti eky’okutondawo emirimu kiri mu buvunaanyizibwa bwa gavumenti so si bwa kkanisa
Kyokka ono asabye basumba banne okukwataganira awamu okulaba nga abantu bebakulembera babeera bulungi kisobozese n’enjiri okwongera okutambula obulungi