crossorigin="anonymous"> NABAKOOBA AKUBIRIZZA ABANTU OKULOOPA MU B’OBUYINZA NGA WABADDEWO ENDOOLIITO KU TTAKA. - KTV & 93.0 KINGDOM FM
January 22, 2025

Minisita w’ensonga z’ettaka ,amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Judith Nabakooba akubirizza abantu okwanguwako okwekubira enduulu mu b’obuyinza nga wabaddewo endooliito ku ttaka basobole okuyambibwa.

Bino Nabakooba abyogeredde ku mukon gwokukuza olunaku lw’abakyala e Kassanda.

Mu kiseera kino nga endooliito ku ttaka zeeyongedde ekiviirako olumu n’abantu abamu okulusuuliramu akaba,  minister w’ebyettaka, amayumba nenkulakulana y’ebibuga Judith Nabakooba akubirizza abantu bonna okuddukira mu wofiisi ezenjawulo okuyambibwa era naabasaba obutasirika busirisi nga balwanira ekyabwe nga okwogera bino asinzidde kumukolo gw’okujaguza olunaku lw’abakyaala e Kasanda

Mungeri yeemu Nabakooba akubirizza abantu okwettanira enteekateeka za gavumenti ez’enkulaakulana okuli eya parish development model

Ono era agumizza abatuuze b’e kassanda ku luguudo lwabwe oluli mu mbeera embi nga agamba nti luno luli mu nteekateeka y’okukolebwa

Omukolo guno  gwetabiddwako abantu abenjawulo okuli Rdc we kasanda Faibe Namulindwa, Kalule Flavia Nabagabe nga ye mubaka omukyala owa kasanda era nga balina obubaka bwebawadde abakyala.

oluvanyuma ba ssentebe b’ebyalo baweereddwa pikipiki okusobola okubayambako mukutambuza emirimu mubituundu byabwe nebakubirizibwa okuzikuuma obulungi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *