crossorigin="anonymous"> NABBANJA AKAMBUWADDE ALAGIDDE POLIISI OKUYIGGA HEEDIMAASITA SSEDDUVUTTO - KTV & 93.0 KINGDOM FM
October 30, 2024

SSabaminisita wa ugànda Robinnah Nabbanja avudde numbeera nasindika omuduumizi wa polisi e Nakaseke agende ayigge omukulu w’essomero agambibwa okukabasanya omuyiziwe era nalabura abalya nnaka abagufudde omuzze okukola ebintu egityobora obuganda wàmu nensi.

Kino kidiridde abatuuze wàmu nabakulembeze ababadde bakunganidde e kiwoko okulajanila SSabaminisita nga polisi mu district eno bwetakyakola KU gasedduvutto ekiviriddeko ebikorwa by’obuliisa manyi okweyongera e Nakaseke.


Abakungu ba government 3 okuri SSabaminisita wa ugànda Robinnah Nabbanja Musaafiri, Justine Kasule Lumumba minister waguno naguri wàmu ne Nankulu we kitongole ekilima engudo ekya UNRA Allen Kagina ,basiibye mukutalaga district ye Nakaseke  nga ekiviiriddeko abasatu bano okugenda enakaseke zenguudo embi ezilemesezza abeeno okukulakulana.

Abatuuze olwabategezezza nti abakungu bano bagenda kujja,enkoko baagikutte mumwa era mukaseera katono ddala SSabaminisita atuuse era ayaniriziddwa minister  Justine Kasule Lumumba , Allen Kagina ,wàmu nabakulembeze b’ekitundu.

Abalya nnaka olubadde okulaba KU minister ,  batandikiddewo okumulomojjera ebizibu ebibasuza nga tebeebasse.

Ababaka bekitundu kino bategezezza SSabaminisita nti ekiri e Nakaseke kissa kinegula olwabasedduvutto okukkiranga amabujje agatanetuuka nebagasobyako nga neyebuvudeko waliwo omukulu w’essomero gwebamuloopedde  eyakabasanya omuyiziwe.

Minister Nabbanja oluwulidde bino,alagidde omuduumizi wa polisi e Nakaseke agende ayigge omukulu w’essomero agambibwa okukabasanya omuyiziwe akwatibwe era n’ategeza abatuuze nga ensonga zaabwe omuri enguudo,amazzi wàmu n’eddwaliro eddene bwebigenda okukolwako.

RT HON.ROBINNAH NABANJA…..PRIME MINISTER.

Ono wano tabandaddewo naayolekera  e bulyamusenyu okulaba olutindo okugenda okugatta Nakasongola KU Nakaseke we lutuuse era awadde ababanja government esuubi nga bwebagenda okusasurwa nga 

Ye Justine Kasule Lumumba alabudde abakozi ba government abakozesa obubi office zabwe nebadda ku nsimbi zomuwi womusolo ne bonoona gavumenti nti ekiseera kyomuzanyo kiweddewo .
JUSTINE KASULE LUMUMBA…. MINISTER FOR GENERAL DUTIES.

Wano, abatuuze bakira beesunga okuwulira ensonga lwaki amakubo gabwe tegalimwa okuva ewa  Allen Kagina akulira ekitongole ekirima enduugo era olubase akazindaro ategezezza abantu lwaki wabaddewo okukeerewa era naabawa esuubi nti okutuuka mu November, enguudo zaabwe zigenda kuba zitandikiddwako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *