OBUTIMBA MU MUKOKOTA N’AMALOBO BYOKEDDWA
Eggye erirwanyisa envuba embi ku Nyanja lyokezza obutimba bu mukokota n’amalobo ebyakwatiddwa mu bikweeweeto ebyakoleddwa mu bitundu bye Entebbe , Mukono n’e Mbale bino nga bibalirirwamu obukadde 447.
Lt. Col. Dick Kaija akulira eggye erirwanyisa ebikolwa byenvuba enkyamu, akakasizza nti ebikwatiddwa byokeddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisookerwako Entebbe Naume Sikhoya .
Ono agamba nti batandise kaweefube w’okufuuza ebivubisibwa ebikyamu nga obwanga babwolekezza abasuubuzi ababiyingiza mu ggwanga
Wano era ategezezza nga abananyini bintu bino abamu bwebaagombebwamu obwala nebasingibwa emisango so nga abajagujagu bassaako kakokola tondeka nyuma
omulamuzi w’entebbe akakasizza nga ebikoleddwa bwebiri mu mateeka era nti basoose kubawo lukusa
Sentebe wo’mwalo guno Sarah Ddungu Ibare asiimye omulimu ogukoledwa aba FPU.