Ministule y’ebyobulamu eraze nga omusujja gw’ensiri bwegweyongedde mu ggwanga nga era mu sabbiiti emu yokka bweti egamba nti abantu 28 beebafudde obulwadde buno.
Minisita omubeezi owebyobulamu ebisookerwako Margaret Muhanga asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti mu kampala naalaga nga omusujja gw’ensiri bwegweyongedde.
Ono kyokka agambye nti minisitule emaze okuweereza obuyambi n’abakugu mu bitundu ebisinze okukosebwa ennyo.
Ono ayogedde ku bitundu ebitawaanyiziddwa ennyo n’omusujja naddala mu bitundu by’obuvanjuba bw’eggwanga okuli disitulikiti nga Butebo, Palisa, Jinja,Namutumba n’endala nga eno abantu ebitundu 60 ku kikumi abazuuliddwamu omusujja aabsinga tebasangiddwa na musaayi.